Stay updated! 🔔 Subscribe Now https://www.youtube.com/c/trendinguganda EKITONGOLE ekirondoola omutindo gw'ebintu mu ggwanga ekya UNBS kikutte ebizigo bya kkampuni za Sure Deal ne Maama Lususu olw’okubeeramu ekirungo ekyerusa ekya 'hydroquinonine' ekirwaza kookolo n’okujingirira akabonero k'ekitongole. Kkampuni ezaakwatiddwa ze zimu ku zisinga okulanga nga bwe bali bakafulu b’okutabula ekizigo ekyerusa n’otafuna binnamakula. Kyokka ekitongole kya UNBS kibaweemukirizza nti mu kukola omulimu guno babadde bagattamu ekirungo kya 'mercury' ne 'hydroquinone' ebirwaza kookolo. Kuno kwe bagatta n’okujingirira akabonero k'ekitongole ke bassa ku bizigo byabwe. UNBS erabudde Bannayuganda nti, bye baakutte si bye bizigo byokka ebitali ku mutindo, kuba waliwo n'ebika ebirala ebiwera 60 ebitundibwa mu katale nga bya bulabe ku bulamu. Phiona Namawejje eyeeyita Maama Lususu atunda bizigo ebyerusa abakyala yatuusiddwa ku kkooti ya Buganda Road ng’aggyibwa e Luzira gye yasuziddwa wakati mu kwebwalabwala ku Lwokutaano ku myaka. Yasimbiddwa mu kkooti y’omulamuzi Gladys Kamasanyu n’addamu okusomerwa emisango gy’okutunda ebizigo okuli akabonero ka UNBS, wadde ng’akimanyi bulungi nti tebikakasibwanga. Maama Lususu yasabye ettaka limumire ng’alabye kkamera za bannamawulire, kyokka nga talina kyakukola. Yagezezzaako nnyo okwebikka engalo mu maaso ng’ali mu kaguli kkamera zireme okumukwata. Embeera yamubijjiridde omulamuzi bwe yagaanyi abazze okumweyimirira olw’obutaba na bisaanyizo. Omu yabadde talina densite ate omulala nga tamulinaako luganda. Kyokka oluvannyuma abooluganda n'emikwano beekubyekubye ne bafuna abamweyimirira abalala. Kwabaddeko; Noordin Sekiwunga ne Muzamir Mugomu. Sekiwunga yalagiddwa okuleeta kaadi y'emmotoka ye eya takisi ate omulala ne bamulagira okuleeta endagaano y'ennyumba ye n’obukadde 100 obutali bwa buliwo. Abeeyimiridde Aunt Lususu baalabuddwa nti singa omusibe talabikako ku Mmande nga February 19, 2019 bajja kusasula obukadde 100 mu buliwo. Ye Maama Lususu baamulagidde okusasula akakadde kamu ak’obuliwo n’okuleka mu kkooti kaadi y'emmotoka ye ekika kye Noah, ekintu kye yakoze. Ekiseera kye yamaze mu kaguli obwedda afuba okulaba nga yeebalama kkamera ng'ateeka emikono mu maaso ng’agezaako okwebikka. Eyabadde alowooza nti, baamukumuyimbula mu bwangu, we yamalidde okusasula ssente n’okufuna ebyetaago ebirala nga ziweze essaawa 10:00 ez’olweggulo. Maama Lususu yasoose kujja mu kkooti ku Lwokuna, kyokka omulamuzi n’amusindika e Luzira asuleyo oluvannyuma lw'okuba nga yabadde tatambudde na bantu bamweyimirira. Ekitongole kya UNBS kigamba nti nga September 14, 2017 kyasanga ebizigo bya Aunt Lususu ng’abitunda mu dduuka lye ku kizimbe kya Nakasero Complex mu Kampala nga kuliko akabonero k'ekitongole ekirondoola omutindo. Ebika by'ebizigo ebyaliko akabonero, kyokka nga tebikakasibwanga kwaliko; Lususu Family Jelly, Aunt Lususu Face Clearing Jelly ne Aunt Lususu Cosmetics. Ekitongole kigamba nti ebizigo bino tebabikakasanga mutindo era akabonero akaliko kaali kajingirire.
EKITONGOLE kya UNBS kikutte ebizigo bya Maama Lususu lwa kirungo ekirwaza kkansa || AGOMUMPAPULA - YouTube | |
14 Likes | 14 Dislikes |
4,072 views views | 85,279 followers |
News & Politics | Upload TimePublished on 12 Feb 2018 |
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét