Stay updated! 🔔 Subscribe Now https://goo.gl/EgnKzy EYALI akulira eddwaliro ly’e Mulago Dr. Lawrence Kaggwa,68, afiiridde mu ddwaliro e Mulago oluvannyuma lw’okutawanyizibwa obulwadde bw’omutima okumala akabanga. Ensonda mu ddwaliro e Mulago zitegeezezza nti afudde ku ssaawa nga 3:00 (ssatu) ez’okumakya leero ku Lwokutaano. Abadde mu ddwaliro ly’omutima erya ‘Uganda Heart Insitute’ e Mulago gye yatwalibwa October 16, 2017. Dr. Kaggwa yatandika okukulira Mulago mu 1993 era n’abeerayo okumala emyaka 13 okutuusa mu 2005 lwe yakyusibwa n’afuuka dayirekita w’okuteekateeka mu minisitule y’ebyobulamu. Yazaalibwa 1948 ku kyalo Kiryasaaka e Masaka. Yazaalibwa omwami Dominic Njala ne Muky. Dorotia Nalubwama. Era yasomera Buyoga Primary School, Bukalasa Seminary, St. Henry Kitovu, St. Mary’s Kisubi n’oluvannyuma n’egenda e Makerere my 1969 okusoma obusawo n’afuna diguli mu 1974. Yakolerako mu ddwaliro e Kitagata n’akulira eby’obulamu e Bushenyi mu Ankole. Yakolerako e Bugiri era n’asomesaako eby’okulongoosa abantu. Yalina eddwaliro ly’obwanannyini ku Wilson road erya ‘Allied Medical Consultant’.
KITALO - Dr. Kaggwa eyali akulira Mulago afudde wakati mukedimo kabasawo || AGOMUMPAPULA - YouTube | |
4 Likes | 4 Dislikes |
1,012 views views | 85,279 followers |
News & Politics | Upload TimePublished on 11 Nov 2017 |
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét