WABALUSEEWO obutakkaanya wakati w’abakungu b’ekitebe kya NRM, Tanda Odoi ne mukama we Ssabawandiisi w’ekibiina, Justine Kasule Lumumba ng’entabwe eva ku bakozi b’ekibiina kino abasoba mu 400 aboolekedde okugobwa ku mirimu. Kasule Lumumba yalangiridde nti abakozi bonna ab’oku kitebe kya NRM ng’oggyeko ye Ssabawandiisi, omumyuka wa Ssabawandiisi, omuwanika n’omumyuka we, ow’ebyensimbi, akulira ebyamateeka, akulira akakiiko k’ebyokulonda n’omumyuka we ne kaminsona w’akakiiko k’ebyokulonda be batagenda kugobwa. Kino kiddiridde okwemulugunya nti abamu ku bakozi b’ekibiina kino bamaze emyezi egiwera nga tebasasulwa musaala. Kyokka Lumumba yagambye nti okubagoba kikoleddwa mu ngeri ya kibiina kwetereeza era bajja kumala emyezi ebiri nga bakola ng’etteeka eribafuga bwe ligamba. Wabula Tanga Odoi yagambye nti ebiguddewo byonna biva ku bukulembeze bubi bwa Kasule Lumumba. ‘’Kasule mulungi amanyi okuzina. Asobola okuzina amazina Amasoga n’asikiriza abalonzi ne batuwa obululu naye mukulembeze mubi nnyo! Teyatuuka na mu mutendera gwa mu matendekero ga waggulu ku ddaala nze natuukako ’’ Odoi bwe yagambye mu busungu. Ayongeddeko nti waludde nga waliwo okwemulugunya nti ekibiina kirina abakozi ab’empewo be kibadde kisasula era Pulezidenti yalagira beetereeze kuba kyali tekigasa bantu kumala myezi egyo nga tebasasulwa. Kyokka Odoi yagambye nti ekitebe kya NRM kyakkaanya n’ab’akakiiko k’ebyokulonda aka NRM baggyeko abakozi be bateetaaga kyokka Lumumba ye ababe teyabagoba akakiiko k’ebyokulonda ke kagoba abaako ne kasigaza be keetaaga. N’agamba nti abamu ku baabadde basasulwa bahawusigaalo ba Lumumba, abamukwatira ensawo, bawolole be n’ababala (abatakola mirimu gya kibiina butereevu). Odoi afundikidde yeewunya okulaba nga Kasule yalangiridde nti abakozi bonna okuli n’abakakiiko k’ebyokulonda baagobeddwa ng’ate bakyalina omulimu omunene ogw’okukola ng’okutegeka okulonda. ‘’Ffe tugenda mu maaso na mirimu gyaffe eby’okugobwa tebitukwatako’’ Odoi bwe yagambye. N’ayongerako nti mu myezi ebiri embeera ejja kuba eterezeddwa.
NRM egobye abakozi baayo bonna: Tanga Odoi awanda muliro || BINSANGAWANO - YouTube | |
17 Likes | 17 Dislikes |
3,191 views views | 85,279 followers |
News & Politics | Upload TimePublished on 21 Feb 2018 |
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét