For more episodes : https://www.youtube.com/playlist?list... OMUYIMBI Judith Babirye bamututte mu kkooti nga bamuvunaana okutunda ettaka emirundi ebiri. Ettaka lino lisangibwa Bwebajja ku luguudo lw’e Ntebe. Yasooka kuliguza Joseph Ojok ku bukadde bw’ensimbi 220, kyokka n’asooka asasulako obukadde 100. Ezaasigalayo baalagaana azisasule oluvannyuma lw’emyezi esatu. Kyokka Ojok agamba nti ebbanga lino lyali terinnaggwaako, Babirye ate n’afuna omuguzi omulala n’amuguza ettaka lino. Ojok bwe yatabuka, Babirye n’amwetondera era n’amusuubiza nti waakumuddiza ssente ze kyokka Ojok agamba nti bukya Babirye yeeyama okuzza ssente zino, takikolanga nga kati kitutte emyaka ebiri ng’abanja. Ojok yavudde mu mbeera n’atwala omusango mu kkooti ng’ayita mu bannamateekabe aba R. Kasirye & Partners Advocates. Mu mpaaba ye Ojok ayagala Babirye amuddize mu bwangu ensimbi ze obukadde 100, ateekemu amagoba ga bukadde 40, kuno ayongereko obukadde 20 olw’ebyo byonna byafi iriziddwa okumala ekiseera kino kyonna. Okusinziira ku ndagasano Bukedde gye yafunyeeko kkopi, enjuyi zombi zakkiriziganya nti ssente zino zaalina okumalibwayo olwo Babirye alyoke asse omukono ku biwandiiko okukyusa obwannannyini bw’ettaka. Wabula bakkiriziganya nti ettaka lino tekuteekeddwa kubaako muntu yenna alikaayanira nti era singa wavaayo omuntu n’akaayana nga Babirye amaze okusasulwa, ateekeddwa okuzza ssente zonna ezimusasuddwaako addizeemu n’amagoba. Babirye bwe yaddamu okutunda ettaka lino omulundi ogwokubiri, Ojok yamutuukirira n’amusaba amuddize ssente ze ze yali yaakamuwaako era Babirye ne yeeyama okuzizza kyokka teyakikola. Ojok yagenda mu bannamateeka be abaawandiikira Babirye ebbaluwa nga June 22, 2017 nga bamujjukiza ebbanja kyokka teyaddamu ekiwalirizza Ojok ensonga okuzitwala mu kkooti. Kyokka Babirye bwe yatuukiriddwa ku nsonga zino yazeegaanyi n’agamba nti ettaka eryogerwako talina kyalimanyiko. Yagambye nti okuva lwe yafuuka omubaka wa palamenti bingi ebimwogeddwaako okumwonoona naye kati yabyesonyiwa boogere buli kye baagala. Ettaka lino erikaayanirwa lisangibwa ku bbulooka 383, poloti nnamba 9660, e Kitende Kawotto ng’okyamira Bwebajja. Omusango gwakwasiddwa omulamuzi Anna Mugenyi.
Omuyimbi Judith Babirye bamututte mu kkooti lwa bufere || Ebibadewo mu Ggwanga Lero - YouTube | |
14 Likes | 14 Dislikes |
3,286 views views | 85,279 followers |
News & Politics | Upload TimePublished on 24 Aug 2017 |
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét